Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 4

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi. Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse. Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.
2Amannyo go gali ng’ekisibo ky’endiga nga kye zijje zisalibweko ebyoya, nga ziva okunaazibwa. Buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo, so tewali eri yokka.
3Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu; n’akamwa ko kandabikira bulungi. Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.
4Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi, ogwatereezebwa obulungi; ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi, zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.
5Amabeere go gombi gali ng’abaana b’empeewo, ab’empeewo, nga balongo, abaliira mu malanga.
6Okutuusa obudde nga bukedde, n’ebisiikirize nga biweddewo, ndigenda ku lusozi olunene olwa mooli ne ku kasozi ak’omugavu.
7Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange, toliiko bbala na limu.
8Jjangu tuve mu Lebanooni, omugole wange, jjangu tuve mu Lebanooni. Lengera okuva ku ntikko ya Amana, n’okuva ku ntikko ya Seniri ne ku ntikko ya Kerumooni, n’okuva mu mpuku ey’empologoma, ne ku nsozi ez’engo.
9Osenzesenze omutima gwange, mwannyinaze, omugole wange; otutte omutima gwange, ne munye y’eriiso lyo gy’onkubye, n’omukuufu ogumu ogw’omu bulago bwo.
10Ng’okwagala kwo kulungi mwannyinaze, omugole wange, okwagala kwo nga kusinga nnyo envinnyo, n’akawoowo ak’amafuta go kasinga eby’akawoowo eby’engeri zonna obulungi.
11Emimwa gyo gitonnya obuwoomi ng’ebisenge eby’omubisi gw’enjuki, omugole wange; amata n’omubisi gw’enjuki biri wansi w’olulimi lwo. Akaloosa ak’ebyambalo byo kali ng’akawoowo ak’e Lebanooni.
12Oli nnimiro eyasimbibwa, mwannyinaze, omugole wange, era oli luzzi olwasibibwa , ensulo eyateekebwako akabonero.
13Ebimera byo nnimiro ya mikomamawanga, erina ebibala byonna eby’omuwendo, ne kofera n’emiti egy’omugavu
14n’omugavu ne kalikomu, ne kalamo ne kinamoni, n’emiti egy’ebika by’omugavu byonna, ne mooli ne alowe, wamu n’eby’akawoowo byonna ebisinga obulungi.
15Oli nsulo ya nnimiro, oluzzi olw’amazzi amalamu, olukulukuta okuva mu Lebanooni.
16Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono, naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu. Mukuntire ku nnimiro yange, akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna, Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye, alye ebibala byamu eby’omuwendo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.