Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 5

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange; nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange. Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange, Nywedde wayini wange n’amata gange. Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
2Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira. Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti, “Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange, owe wange ataliiko bbala, kubanga omutwe gwange gutobye omusulo, n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
3Nziggyeko ekkooti yange, nnaagyambala ntya nate? Nanaabye ebigere, nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
4Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo, omutima gwange ne gubuukabuuka.
5Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange, emikono gyange nga gitonnya mooli, n’engalo zange nga zikulukuta mooli, ku minyolo gy’ekufulu.
6Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange, naye muganzi wange ng’avuddewo, yeetambulidde. Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye. Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
7Abakuumi baansanga bwe baali nga balawuna mu kibuga; baankuba, ne bandeetako ebinuubule, ne batwala n’ekyambalo kyange, abasajja abo abakuuma bbugwe.
8Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange, mumutegeeze ng’okwagala kwange gy’ali bwe kunzita.
9Owange, kiki muganzi wo ky’alina kyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi? Kiki muganzi wo kyasinza abalala n’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?
10Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu, atabula ne mu bantu omutwalo.
11Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo; n’enviiri ze zirimu amayengo, era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.
12Amaaso ge gali ng’amayiba ku mabbali g’emigga egy’amazzi, agaanaazibwa n’amata, ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.
13Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo, obuleeta akaloosa akalungi. Emimwa gye giri ng’amalanga agakulukuta mooli.
14Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabu egiteekebwamu amayinja ag’omuwendo. Omubiri gwe guli ng’amasanga amayooyote agatoneddwa ne safiro.
15Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira ezisimbibwa mu zaabu ennungi. Mu ndabika afaanana Lebanooni omulungi ng’emivule gyayo.
16Enjogera ye mpomerevu, weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa. Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange; mmwe abawala ba Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.