Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 3

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ekiro kyonna nga ndi ku kitanda kyange, nalindirira emmeeme yange gw’eyagala, ne munoonya naye saamulaba.
2Nnaagolokoka ne ntambulatambulako mu kibuga, mu nguudo ne mu bifo ebigazi; nanoonya emmeeme yange gw’eyagala, ne nnindirira naye saamulaba.
3Abakuumi b’ekibuga abaali balawuna mu kibuga, ne bansisinkana, ne mbabuuza nti, “Mundabidde ku oyo emmeeme yange gw’eyagala?”
4Twali twakayisiŋŋanya, ne ndaba oyo emmeeme yange gw’eyagala. Ne munnywegera ne simuganya kugenda, okutuusa lwe namuleeta mu nnyumba ya mmange, ne mutwala mu kisenge ky’oyo eyanzaala.
5Mbakuutira mmwe abawala ba Yerusaalemi, ng’empeewo n’enjaza ez’oku ttale, temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa nga kwesiimidde.
6Ani oyo ajja ng’ava mu ddungu, afaanana ng’empagi ey’omukka, asaabye ebyakaloosa ebya mooli n’omugavu, okuva mu byakaloosa byonna eby’omusuubuzi?
7Laba, kye kigaali kya Sulemaani, ekiwerekeddwako abasajja ab’amaanyi nga nkaaga, abalwanyi abazira abasingayo mu Isirayiri,
8bonna balina ebitala, era bamanyirivu mu kulwana; buli omu n’ekitala kye mu kiwato kye, nga beetegekedde entiisa ey’ekiro.
9Kabaka Sulemaani yeekolera ekigaali eky’emiti egy’omu Lebanooni.
10Empagi zaakyo yazisiigako ffeeza, ne wansi waakyo nga wa zaabu, n’entebe yaamu ng’eriko olugoye lwa ffulungu; ne munda nga mwaliire bulungi n’okwagala, okw’abawala ba Yerusaalemi.
11Mufulume, mmwe abawala ba Sayuuni, mulabe ku Kabaka Sulemaani ng’ayambadde engule, engule nnyina gye yamutikkira ku lunaku olw’embaga ye, ku lunaku omutima gwe kwe gwasanyukira.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.