Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 64

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Katonda, owulire eddoboozi lyange, ery’okwemulugunya kwange; okuume obulamu bwange eri okutiisibwatiisibwa omulabe.
2Onkweke mpone enkwe z’abakola ebibi, onzigye mu kibinja ky’aboonoonyi, abaleekaana
3abawagala ennimi zaabwe ng’ebitala, ne balasa ebigambo byabwe ng’obusaale obutta.
4Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase; amangwago ne bamulasa nga tebatya.
5Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi ne bateesa okutega emitego mu kyama; ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
6Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti, “Tukoze enteekateeka empitirivu.” Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
7Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe; alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
8Ebyo bye boogera biribaddira, ne bibazikiriza, ababalaba ne babanyeenyeza emitwe.
9Olwo abantu bonna ne batya, ne bategeeza abalala omulimu gwa Katonda, ne bafumiitiriza ku ebyo by’akoze.
10Omutuukirivu ajagulizenga mu Mukama , era yeekwekenga mu ye. Abo bonna abalina omutima omulongoofu bamutenderezenga!
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.