Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 63

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya n’omutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ng’ali mu nsi enkalu omutali mazzi.
2Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu, ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.
3Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga.
4Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna; nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.
5Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga; nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.
6Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange, era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.
7Olw’okuba ng’oli mubeezi wange, nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.
8Emmeeme yange yeekwata ku ggwe; omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.
9Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa, baliserengeta emagombe.
10Balisaanawo n’ekitala; ne bafuuka emmere y’ebibe.
11Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.