Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 65

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Osaanira okutenderezebwanga, Ayi Katonda, ali mu Sayuuni; tunaatuukiririzanga obweyamo bwaffe gy’oli.
2Ayi ggwe awulira okusaba kw’abantu bo, abantu bonna banajjanga gy’oli olw’ebibi byabwe.
3Ebibi byaffe bwe byatusukkirira, n’otutangiririra.
4Alina omukisa oyo gw’olonda n’omusembeza okumpi naawe, abeerenga mu mpya zo. Tunaamalibwanga ebirungi eby’omu nnyumba yo; eby’omu Yeekaalu yo entukuvu.
5Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna abali ewala mu nnyanja zonna,
6ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo, n’ozinyweza n’amaanyi go,
7ggwe, asirisa okusiikuuka kw’ennyanja, n’okkakkanya okwetabula kw’amayengo gaayo, era ggw’okkakkanya okwegugunga kw’amawanga.
8Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo; ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
9Ensi ogirabirira n’ogifukirira n’egimuka nnyo. Emigga gya Katonda gijjudde amazzi, okuwa abantu emmere ey’empeke, kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
10Otonnyesa enkuba mu nnimiro, n’ojjuza ebitaba byamu; n’ogonza ettaka, ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
11Ofundikira omwaka n’amakungula amangi, ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
12Ebifo awali omuddo mu ddungu bijjula amazzi, n’obusozi ne bulabika bulungi nga bweyagala.
13Amalundiro gajjula ebisibo, n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke. Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.