Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 29

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mutendereze Mukama , mmwe abaana b’ab’amaanyi. Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye; musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi; Katonda ow’ekitiibwa abwatuka, n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi; eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5Eddoboozi lya Mukama limenya emivule; Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana, ne Siriyooni ng’ennyana y’embogo.
7Eddoboozi lya Mukama libwatukira mu kumyansa.
8Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu; Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule, n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola. Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama !”
10Mukama atuula waggulu w’amataba ku ntebe ye ey’obwakabaka. Mukama ye Kabaka afuga emirembe gyonna.
11Mukama awa abantu be amaanyi; Mukama awa abantu be emirembe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.