Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 28

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama , Olwazi lwange, tolema kumpuliriza; kubanga bw’onoonsiriikirira nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange, nga mpanise emikono gyange okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu, nga nkukaabirira okunnyamba.
3Tontwalira mu boonoonyi, abakola ebibi; abanyumya obulungi ne bannaabwe, so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri, n’olw’ebyambyone bye bakoze. Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza, obabonereze nga bwe basaanidde.
5Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama , oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye, alibazikiririza ddala, era talibaddiramu.
6Atenderezebwe Mukama , kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7Mukama ge maanyi gange, era ye ngabo yange, ye gwe neesiga. Bwe ntyo ne nyambibwa. Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
8Mukama y’awa abantu be amaanyi, era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
9Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo. Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.