Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 30

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama , kubanga wannyimusa; n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
2Ayi Mukama , nakukaabirira onnyambe, n’omponya.
3Ayi Mukama , omwoyo gwange waguggya emagombe, n’omponya ekinnya.
4Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be; mutendereze erinnya lye ettukuvu.
5Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera, naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna. Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka essanyu ne lijja nga bukedde.
6Bwe namala okunywera ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
7Ayi Mukama , bwe wanjagala, wanyweza olusozi lwange; naye bwe wankweka amaaso go ne neeraliikirira.
8Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama ; ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
9“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya ne nzikirira? Enfuufu eneekutenderezanga n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10Mpuliriza, Ayi Mukama , onsaasire; Ayi Mukama , onnyambe.”
11Ofudde okwaziirana kwange amazina; onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga. Ayi Mukama , Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.