Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 27

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange; ani gwe nnaatyanga? Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange; ani asobola okuntiisa?
2Abalabe bange n’abantu ababi bonna bwe banannumba nga baagala okunzita, baneesittala ne bagwa.
3Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula, omutima gwange teguutyenga; olutalo ne bwe lunansitukirangako, nnaabanga mugumu.
4Ekintu kimu kye nsaba Mukama , era ekyo kye nnoonya: okubeeranga mu nnyumba ya Mukama ennaku zonna ez’obulamu bwange, ne ndabanga obulungi bwa Mukama , era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5Kubanga mu biseera eby’obuzibu anansuzanga mu nju ye; anankwekanga mu weema ye, n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6Olwo ononnyimusanga waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde. Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu; nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama , nga nkukoowoola; onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.” Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama .”
9Tonneekweka, so tonyiigira muweereza wo, kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo. Tonneggyaako, so tonsuula, Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10Kitange ne mmange bwe balindeka, Mukama anandabiriranga.
11Njigiriza, Ayi Mukama , by’oyagala nkole, era onkulembere mu kkubo lyo, kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12Tompaayo mu balabe bange, kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe, okunkambuwalira.
13Nkyakakasiza ddala nga ndiraba obulungi bwa Mukama mu nsi ey’abalamu.
14Lindirira Mukama . Ddamu amaanyi, ogume omwoyo. Weewaawo, lindirira Mukama .
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.