Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 26

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Onnejjeereze, Ayi Mukama , kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa; nneesiga ggwe, Ayi Mukama , nga sibuusabuusa.
2Neetegereza, Ayi Mukama , ongezese; weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera, era mu mazima go mwe ntambulira.
4Situula na bantu balimba, so siteesaganya na bakuusa.
5Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi; so situula na bakozi ba bibi.
6Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango; ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama ;
7ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza, olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama , kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9Tombalira mu boonoonyi, wadde mu batemu,
10abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi, era abali b’enguzi.
11Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa; nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama , ondokole.
12Nnyimiridde watereevu. Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.