Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 25

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Eri ggwe, Ayi Mukama , gye ndeeta okusaba kwange.
2Neesiga ggwe, Ayi Mukama , tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
3Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga, naye ab’enkwe baliswazibwa.
4Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama , ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
5Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna; kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
6Jjukira, Ayi Mukama , okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi, kubanga byava dda.
7Tojjukira bibi byange n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange. Onzijukire, Ayi Mukama , ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.
8Mukama mulungi, era wa mazima, noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
9Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu n’abayigiriza ekkubo lye.
10Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama , onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.
12Omuntu wa ngeri ki atya Katonda? Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda, era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14Mikwano gya Mukama be bo abamugondera; anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15Ntunuulira Mukama buli kiseera, kubanga yekka y’anzigya mu kabi.
16Nkyukira, Ayi Mukama , onkwatirwe ekisa, kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange; mponya okweraliikirira kwange.
18Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange; onzigyeko ebibi byange byonna.
19Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi n’okunkyawa kwe bankyawamu!
20Labiriranga obulamu bwange, obamponye; tondekanga mu buswavu, kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21Amazima n’obulongoofu bindabirirenga, essubi lyange liri mu ggwe.
22Nunula Isirayiri, Ayi Katonda, omuwonye emitawaana gye gyonna.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.