Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 24

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna, n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja, n’agizimba ku mazzi amangi.
3Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya? Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu; atasinza bakatonda abalala, era atalayirira bwereere.
5Oyo Mukama anaamuwanga omukisa, n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya, Ayi Katonda wa Yakobo.
7Mweggulewo, mmwe bawankaaki! Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda, Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8Kabaka ow’ekitiibwa ye ani? Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza, omuwanguzi mu ntalo.
9Mweggulewo, mmwe bawankaaki, muggulwewo mmwe enzigi ez’edda! Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani? Mukama Ayinzabyonna; oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.