Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 2

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Lwaki amawanga geegugunga n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
2Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye, n’abafuzi ne bateeseza wamu ku Mukama ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
3“Ka tukutule enjegere zaabwe, era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”
4Naye Katonda oyo atuula mu ggulu, abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
5N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu, n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
6N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”
7Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama : kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange, olwa leero nfuuse kitaawo.
8Nsaba, nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo, era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
9Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma, era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”
10Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka; muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11Muweereze Mukama nga mumutya, era musanyuke n’okukankana.
12Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe; kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu. Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.