Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 1

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, era atayimirira mu kibiina ky’ababi, newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
2Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama , era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
3Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga, ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo, n’ebikoola byagwo tebiwotoka. Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.
4Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo. Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
5Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango; newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.
6Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu, naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.