Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 3

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama , abalabe bange nga beeyongedde obungi! Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
2Bangi abanjogerako nti, “Katonda tagenda kumununula.”
3Naye ggwe, Ayi Mukama , ggwe ngabo yange enkuuma; ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
4Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.
5Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi, kubanga Mukama ye ampanirira.
6Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange abanneetoolodde, okunnumba.
7Golokoka, Ayi Mukama , ondokole Ayi Katonda wange okube abalabe bange bonna omenye oluba lw’abakola ebibi.
8Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama . Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.