Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 143

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama , wulira okwegayirira kwange! Ggwe omwesigwa era omutuukirivu jjangu ombeere.
2Tonsalira musango, kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
3Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi; anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
4Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi, n’omutima gwange gwennyise.
5Nzijukira ennaku ez’edda, ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna, ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
6Ngolola emikono gyange gy’oli, ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.
7Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama , kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi. Tonkisa maaso go, nneme okufaanana ng’abafu.
8Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo; kubanga ggwe gwe neesiga. Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu, kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
9Mponya, Ayi Mukama , abalabe bange, kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10Njigiriza okukola by’oyagala, kubanga ggwe Katonda wange! Omwoyo wo omulungi ankulembere, antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.
11Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama , onkuume, mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo, ozikirize n’abanjigganya bonna, kubanga nze ndi muddu wo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.