Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 144

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Atenderezebwe Mukama , olwazi lwange, atendeka emikono gyange okulwana, era ateekerateekera engalo zange olutalo.
2Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange, ge maanyi gange amangi era ye mulokozi wange. Ye ngabo yange mwe neekweka. Awangula amawanga n’agassa wansi w’ebigere byange.
3Ayi Mukama , omuntu kye ki ggwe okumufaako, oba omwana w’omuntu, ggwe okumulowoozaako?
4Omuntu ali nga mukka. Ennaku ze ziri ng’ekisiikirize ekiyita obuyisi.
5Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama , okke! Kwata ku nsozi zinyooke omukka!
6Myansa abalabe basaasaane, era lasa obusaale bwo obazikirize.
7Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo, omponye, onzigye mu mazzi amangi, era onzigye mu mikono gya bannamawanga;
8ab’emimwa egyogera eby’obulimba, abalayira nti kya mazima, so nga bulimba bwereere.
9Ayi Mukama , nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya; nnaakukubiranga ennanga ey’enkoba ekkumi,
10ggwe awa bakabaka obuwanguzi; amponya, nze omuddu wo Dawudi, ekitala ekyogi.
11Ndokola, omponye onzigye mu mukono gwa bannamawanga bano ab’emimwa egyogera eby’obulimba, era omukono gwabwe ogwa ddyo gwa bulimba.
12Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama , babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi, ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.
13Amawanika gaffe gajjule ebibala ebya buli ngeri. Endiga zaffe zizaale enkumi n’obukumi zijjule amalundiro gaffe.
14Ente zaffe ziwalule ebizito. Ebisenge by’ekibuga bireme kumenyebwa. Waleme kubaawo kukaaba n’okwaziirana kwonna mu nguudo ez’omu bibuga byaffe.
15Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye! Balina omukisa abantu abo abalina Katonda waabwe nga ye Mukama .
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.