Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 142

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka; neegayirira Mukama ansaasire.
2Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa, ne mmwanjulira ebinteganya byonna.
3Omwoyo gwange bwe gunnennyika, gw’omanyi eky’okunkolera. Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
4Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera; sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.
5Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama , nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange, ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”
6Owulire okukaaba kwange, kubanga njeezebwa nnyo! Mponya abanjigganya, kubanga bansinza nnyo amaanyi.
7Nziggya mu kkomera, ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo. Abatuukirivu balinneetooloola, ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.