Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 141

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi! Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
2Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go, n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.
3Onkuume, Ayi Mukama , nneme okwasamya akamwa kange, era bwe njogera onkomeko.
4Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi, n’okwemalira mu bikolwa ebibi; nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu, wadde okulya ku mmere yaabwe.
5Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa; muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange; sijja kugagaana. Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
6Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango, olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
7Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike, n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”
8Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda; mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
9Nkuuma omponye omutego gwe banteze, n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.