1Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama , omponye abantu abakambwe;
2abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi; abanoonya entalo buli kiseera.
3Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota; ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.
4Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama ; omponye abantu abakambwe abateesa okunkyamya.
5Abantu ab’amalala banteze omutego; banjuluzza ekitimba kyabwe; ne batega emitego mu kkubo lyange.
6Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.” Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama !
7Ayi Mukama , Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go, ggwe engabo yange mu lutalo.
8Ayi Mukama , abakola ebibi tobawa bye beetaaga, era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira; baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.
9Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe zibeekyusizeeko baboneebone.
10Amanda agaaka omuliro gabagwire; basuulibwe mu muliro, bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11Tokkiriza balimba kweyongera bungi; abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.
12Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13Abatuukirivu banaakutenderezanga, era w’oli we banaabeeranga.