Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 139

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama , okebedde omutima gwange, n’otegeera byonna ebiri munda yange.
2Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya; era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
3Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange. Omanyi amakubo gange gonna.
4Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama , okimanya nga sinnaba na kukyogera.
5Ondi mu maaso n’emabega, era ontaddeko omukono gwo.
6Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde, era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.
7Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali? Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
8Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli; bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
9Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya, omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire, n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza, ekiro kyakaayakana ng’emisana; kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.
13Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze; ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo; emirimu gyo gya kyewuunyo; era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15Wammanya nga ntondebwa, bwe nakolerwa mu kyama; bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16Wandaba nga si natondebwa. Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda! Omuwendo gwabyo munene!
18Singa ngezaako okubibala bisinga omusenyu obungi. Ne bwe ngolokoka mu makya oba okyandowoozaako.
19Abakola ebibi batte, Ayi Katonda; abasajja abassi b’abantu banveeko.
20Abantu abo bakwogerako bibi; bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21Abakukyawa, Ayi Mukama , nange mbakyawa; abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22Mbakyayira ddala nnyo, era mbayita balabe bange.
23Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange. Ngezesa omanye ebirowoozo byange.
24Olabe obanga mu nze mulimu engeri yonna enkyamu; era onkulembere mu kkubo erintuusa mu bulamu obutaggwaawo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.