Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 138

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nnaakutenderezanga Ayi Mukama , n’omutima gwange gwonna; ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
2Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu, ne ntendereza erinnya lyo olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo; kubanga wagulumiza ekigambo kyo n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
3Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula; n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.
4Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama , nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
5Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama ; kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.
6Newaakubadde nga Mukama asukkulumye, naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
7Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu, naye ggwe okuuma obulamu bwange; ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe, era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
8Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde; kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama , kubeerera emirembe gyonna. Tolekulira ebyo bye watonda.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.