Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 13

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama ? Okutuusa emirembe gyonna? Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
3Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange; onzizeemu amaanyi nneme okufa.
4Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;” abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
5Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
6Nnaayimbiranga Mukama , kubanga ankoledde ebirungi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.