Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 14

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti, “Tewali Katonda.” Aboogera bwe batyo boonoonefu, bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.
2Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi ng’asinziira mu ggulu, okulaba obanga mulimu mu bo ategeera, era abanoonya Katonda.
3Naye bonna bakyamye boonoonese; teri akola kirungi, era teri n’omu.
4Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga? Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere; so tebakoowoola Mukama .
5Balitya nnyo! Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
6Mulemesa entegeka z’omwavu, songa Mukama kye kiddukiro kye.
7Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni! Mukama bw’alirokola abantu be, Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.