Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 12

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Tuyambe, Ayi Mukama , kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda; abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2Buli muntu alimba munne; akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3Mukama , osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana, na buli lulimi olwenyumiriza;
4nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe, kubanga ani alitukuba ku mukono.”
5Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu, n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu, nnaasituka kaakano ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
6Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima. Bigeraageranyizibwa n’effeeza erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
7Ayi Mukama , tukwesiga ng’onootukuumanga, n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
8Ababi beeyisaayisa nga bagulumiza ebitaliimu nsa.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.