1Si ffe, Ayi Mukama , si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa, olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2Lwaki amawanga gabuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?”
3Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli ky’ayagala.
4Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba.
6Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8abakozi ababikola, n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama , ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama , ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama , ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa. Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa; ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, Mukama anaabawanga omukisa.
14Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi, mmwe n’abaana bammwe.
15Mukama , eyakola eggulu n’ensi, abawe omukisa.
16Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama , naye ensi yagiwa abantu bonna.
17Abafu tebatendereza Mukama , wadde abo abaserengeta emagombe.
18Naye ffe tunaatenderezanga Mukama , okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama !