Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 114

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Isirayiri bwe yava mu Misiri, abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
2Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda, Isirayiri n’afuuka amatwale ge.
3Ennyanja bwe yabalaba n’edduka; Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
4Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume, n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.
5Ggwe ennyanja, lwaki wadduka? Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
6Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume, nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?
7Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama, mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
8eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi, n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.