Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 116

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mukama mmwagala, kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
2Kubanga ateze okutu kwe gye ndi, kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
3Emiguwa gy’okufa gyansiba, n’okulumwa okw’emagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
4Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti, “Ayi Mukama , ndokola.”
5Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe ajjudde okusaasira.
6Mukama alabirira abantu abaabulijjo; bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
7Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
8Kubanga ggwe, Ayi Mukama , owonyezza omwoyo gwange okufa, n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba; n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
9ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama mu nsi ey’abalamu.
10Nakkiriza kyennava njogera nti, “Numizibbwa nnyo.”
11Ne njogera nga nterebuse nti, “Abantu bonna baliraba.”
12Mukama ndimusasula ntya olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13Nditoola ekikompe eky’obulokozi, ne nkoowoola erinnya lya Mukama .
14Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama , mu maaso g’abantu be bonna.
15Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama .
16Ayi Mukama , onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
17Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama .
18Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama , mu maaso g’abantu be bonna,
19mu mpya z’ennyumba ya Mukama ; wakati wo, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama .
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.