Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 113

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mutendereze Mukama ! Mumutendereze, mmwe abaweereza be, mutendereze erinnya lya Mukama .
2Erinnya lya Mukama litenderezebwe okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
3Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga.
4Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna, era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu.
5Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo,
6ne yeetoowaza okutunuulira eggulu n’ensi?
7Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu; n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu,
8n’abatuuza wamu n’abalangira, awamu n’abalangira abo abafuga abantu be.
9Omukazi omugumba amuwa abaana, n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu. Mutendereze Mukama !
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.