Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yona 3

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti,
2“Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”
3Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna.
4Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.”
5Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.
6Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu.
7Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti, Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be: “Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi;
8naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe.
9Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
10Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.