Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yona 4

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Naye Yona n’anyiiga nnyo.
2N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama , bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano.
3Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”
4Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”
5Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga.
6Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo.
7Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa.
8Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”
9Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?” Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
10Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera.
11Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.