Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yona 2

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba
2nti, “Mu nnaku yange ennyingi nakaabirira Mukama n’anziramu; mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola, era n’owulira eddoboozi lyange!
3Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja, ne nzika, amayengo gonna, ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta ne bimbikka ne binneetooloola.
4Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa mu maaso go; Ddala ndiddayo nate okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi; Amazzi nga ganneetoolodde era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
6Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo, ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe. Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya, Ayi Mukama Katonda wange.
7“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda. Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka mu yeekaalu yo entukuvu.
8“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza, beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza, ndikuwa ssaddaaka. Ddala ndituukiriza obweyamo bwange kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
10Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.