Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yobu 18

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo Birudaadi Omusukusi n’ayanukula n’agamba nti,
2“Mulikomya ddi okufuulafuula ebigambo? Muddeemu amagezi, tulyoke twogere.
3Lwaki tutwalibwa ng’ente era ne tulowoozebwa okuba abasirusiru mu maaso gammwe?
4Ggwe eyeyuzayuza olw’obusungu, abantu ensi bagiveeko ku lulwo, oba enjazi zive mu bifo byazo?
5“Ddala etabaaza y’omukozi w’ebibi ezikidde, era n’omuliro gw’ekyoto kye tegukyayaka.
6Ekitangaala kivudde mu weema ye; n’ettaala eri ku mabbali ge nayo ezikidde.
7Amaanyi gamuwedde, ebigere bye tebikyali bya maanyi, era enkwe ze, ze zimusuula.
8Eky’amazima ebigere bye byamusuula mu kitimba era n’atangatanga mu butimba.
9Omutego gumukwata ekisinziiro; akamasu ne kamunyweeza.
10Omuguwa gumukwekerwa mu ttaka; akatego kamulindirira mu kkubo lye.
11Entiisa emukanga enjuuyi zonna era n’emugoba kigere ku kigere.
12Emitawaana gimwesunga; ekikangabwa kirindiridde okugwa kwe.
13Kirya ebitundu by’olususu lwe; omubereberye wa walumbe amulyako emikono n’ebigere.
14Aggyibwa mu bukuumi bwa weema ye era n’atwalibwa eri kabaka w’ebikangabwa.
15Omuliro gumalirawo ddala byonna eby’omu weema ye; ekibiriiti kyakira mu kifo mw’abeera.
16Emirandira gye gikala wansi, n’amatabi ge gakala waggulu.
17Ekijjukizo kye kibula ku nsi; talina linnya mu nsi.
18Agobebwa okuva mu kitangaala, agenda mu kizikiza n’aggyibwa mu nsi.
19Talina mwana wadde omuzzukulu mu bantu be, newaakubadde ekifo mwabeera.
20Abantu ab’ebugwanjuba beewuunya ebyamutuukako; n’ab’ebuvanjuba ne bakwatibwa ekikangabwa.
21Ddala bw’etyo bw’ebeera ennyumba y’omukozi w’ebibi; bwe gaba bwe gatyo amaka g’oyo atamanyi Katonda.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.