Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yobu 17

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Omutima gwange gwennyise, ennaku zange zisalibbwaako, entaana enninze.
2Ddala abansekerera bannetoolodde; amaaso gange gabeekengera.
3“Ompe, Ayi Katonda akakalu k’onsaba. Ani omulala ayinza okunneeyimirira?
4Ozibye emitima gyabwe obutategeera; noolwekyo toobakkirize kuwangula.
5Omusajja avumirira mikwano gye olw’empeera alireetera amaaso g’abaana be okuziba.
6“Katonda anfudde ekisekererwa eri buli omu, anfudde buli omu gw’afujjira amalusu mu maaso.
7Amaaso gange gayimbadde olw’okunakuwala; omubiri gwange gwonna kaakano guli nga kisiikirize.
8Abantu ab’amazima beesisiwala olwa kino; atalina musango agolokokedde ku oyo atatya Katonda.
9Naye era abatuukirivu banaakwatanga amakubo gaabwe, n’abo ab’emikono emirongoofu baneeyongeranga amaanyi.
10“Naye mukomeewo mwenna kaakano, mujje, naye siraba muntu mugezi mu mmwe!
11Ennaku zange ziyise entegeka zange zoonoonese, era bwe kityo n’okwegomba kw’omutima gwange.
12Abantu bano ekiro bakifuula emisana; mu kizikiza mwennyini mwe bagambira nti, Ekitangaala kinaatera okujja.
13Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi, bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’ era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15kale essuubi lyange liba ludda wa? Ani ayinza okuliraba?
16Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.