Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Yobu 19

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Awo Yobu n’addamu nti:
2“Mulikomya ddi okunnyigiriza ne mummenya n’ebigambo?
3Emirundi kkumi nga munvuma; temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4Bwe kiba nga kituufu nti nawaba, obukyamu bwange, bwange nzekka.
5Bwe muba munneegulumiririzaako ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6mumanye nga Katonda ankoze bubi era anzingizza mu kitimba kye.
7“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu; ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita; amakubo gange agalese mu kizikiza.
9Anziggyeeko ekitiibwa kyange n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu, asigula essuubi lyange ng’omuti.
11Obusungu bwe bumbubuukirako; ambala ng’omu ku balabe be.
12Amaggye ge galumba n’amaanyi; ganzimbako enkomera ne gagumba okwetooloola weema yange.
13“Anziggyeeko baganda bange; abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala, mikwano gyange ginneerabidde.
15Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi, ne bandaba nga munnagwanga.
16Mpita omuddu wange naye tawulira, wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange; nakyayibwa baganda bange bennyini.
18N’obulenzi obuto bunsekerera; buli lwe bundaba bunvuma.
19Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa; abo be nnayagalanga banneefuukira.
20Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka.
21“Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa, kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala?
23“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa, Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati, oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26Era ng’olususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27nze mwene ndimulaba, n’amaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28“Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29nammwe bennyini musaana mutye ekitala. Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala, olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.