Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 86

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Otege okutu kwo, Ayi Mukama , owulire okusaba kwange, onnyanukule, kubanga ndi mwavu atalina kintu.
2Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa. Katonda wange, ondokole nze omuddu wo akwesiga.
3Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
4Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama; kubanga omwoyo gwange nguyimusa eyo gy’oli.
5Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama; n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
6Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama ; owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
7Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga; kubanga ononnyanukulanga.
8Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama; era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
9Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda ganajjanga mu maaso go ne gakusinza; era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa; ggwe wekka ggwe Katonda.
11Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama , ntambulirenga mu mazima go; ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana, ntyenga erinnya lyo.
12Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna; erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi; wawonya omwoyo gwange amagombe.
14Ayi Katonda, ab’amalala bannumba, ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita, be bantu abatakufiirako ddala.
15Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa, olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16Onkyukire, onsaasire, ompe amaanyi go nze omuweereza wo; nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo, abalabe bange bakalabe baswale; kubanga ggwe, Ayi Mukama , onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.