Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 85

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama ; Yakobo omuddizza ebibye.
2Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe, n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3Ekiruyi kyo kyonna okirese, n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe, oleke okutusunguwalira.
5Onootusunguwaliranga emirembe gyonna? Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6Tolituzaamu ndasi, abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda, era otuwe obulokozi bwo.
8Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba; asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe; naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya, ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye; obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11Obwesigwa bulose mu nsi, n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi, n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13Obutuukirivu bunaamukulemberanga, era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.