Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 57

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Onsaasire, Ayi Katonda, onsaasire, kubanga neesiga ggwe. Nzija kwekweka mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo okutuusa okuzikirira bwe kulikoma.
2Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ennyo, Katonda atuukiriza bye yantegekera.
3Alisinzira mu ggulu n’andokola, n’amponya abo abampalana. Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
4Mbeera wakati mu mpologoma, nsula mu bisolo ebirya abaana b’abantu. Amannyo g’abalabe bange gali ng’amafumu n’obusaale. Ennimi zaabwe ziri ng’ebitala ebyogi.
5Ayi Katonda, ogulumizibwenga okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6Baatega ekitimba mu kkubo lyange, ne ntya nnyo; ne basimamu obunnya, ate bo bennyini ne babugwamu.
7Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda, omutima gwange munywevu. Nnaakutenderezanga n’ennyimba.
8Zuukuka, ggwe omwoyo gwange! Zuukuka ggwe ennanga ey’enkoba, naawe entongooli, ndyoke nnyimbe okukeesa obudde.
9Ayi Mukama, ndikwebaza mu mawanga; ndiyimba nga nkutendereza mu bantu.
10Kubanga okwagala kwo kungi nnyo, kutuuka ne ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
11Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okusinga eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.