Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 56

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya; buli lunaku bannumba n’amaanyi.
2Abalabe bange bannondoola, bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.
3Buli lwe ntya, neesiga ggwe.
4Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye, ye Katonda gwe neesiga; siityenga. Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?
5Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula; ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.
6Beekobaana ne bateesa, banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange; nga bannindirira banzite.
7Tobakkiriza kudduka ne bawona; mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.
8Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi; amaziga gange gateeke mu ccupa yo! Wagawandiika.
9Bwe nkukoowoola, abalabe bange nga badduka. Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.
10Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye; Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;
11Katonda oyo gwe neesiga, siityenga. Abantu bayinza kunkolako ki?
12Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda; ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.
13Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa. Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala; ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda mu musana nga ndi mulamu?
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.