Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 52

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi? Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza. Olulimi lwo lwogi nga kkirita era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi, n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4Osanyukira nnyo okwogera ebirumya. Ggwe olulimi kalimbira!
5Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna; alikusikula, akuggye mu maka go; alikugoba mu nsi y’abalamu.
6Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde. Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7“Mumulabe omusajja ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye, naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi, ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
8Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni ogukulira mu nnyumba ya Katonda. Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo emirembe n’emirembe.
9Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze. Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi; era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.