Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 51

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Onsaasire, Ayi Mukama , ggwe alina okwagala okutaggwaawo. Olw’okusaasira kwo okungi nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2Nnaazaako obutali butuukirivu bwange, ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3Ebyonoono byange mbikkiriza, era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye, ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba; noolwekyo by’oyogera bituufu, era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5Ddala, nazaalibwa mu kibi; kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange. Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7Onnaaze n’ezobu ntukule onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8Onzirize essanyu n’okwesiima, amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9Totunuulira bibi byange, era osangule ebyonoono byange byonna.
10Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda, era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11Tongoba w’oli, era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo, era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go, n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda, ggwe Katonda ow’obulokozi bwange; olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange, n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde; n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo. Omutima ogumenyese era oguboneredde, Ayi Katonda, toogugayenga.
18Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima. Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu, ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa; n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.