Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 46

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe; omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga, ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda, kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera. Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa; ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
7Mukama ow’Eggye ali naffe, Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8Mujje, mulabe Mukama by’akola, mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9Y’akomya entalo mu nsi yonna; akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya; amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda. Nnaagulumizibwanga mu mawanga. Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11Katonda ow’Eggye ali naffe; Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.