Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 45

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka. Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
2Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi; n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa. Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
3Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi, yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
4Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi, ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu. Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
5Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka; afuge amawanga.
6Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera; n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
7Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi; noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
8Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya. Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza mu mbiri zo ez’amasanga.
9Mu bakyala bo mulimu abambejja; namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
10Muwala, wuliriza bye nkugamba: “Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira; nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12Muwala w’e Ttuulo alijja n’ekirabo, abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye, ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi. Emperekeze ze zimuwerekerako; bonna ne bajja gy’oli.
15Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala, ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
16Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe, olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna. Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.