Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 41

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Alina omukisa asaasira omunaku; Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
2Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe, era anaamuwanga omukisa mu nsi; n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
3Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde; n’amuwonya mu bulumi.
4Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
5Abalabe bange boogeza obukyayi nti, “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
6Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange; naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa. Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.
7Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama; nga banjogerako ebitali birungi.
8Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo, emukubye wansi tayinza kuwona.”
9Era ne mukwano gwange gwe neesiganga bwe twalyanga, anneefuukidde.
10Naye ggwe, Ayi Mukama , onsaasire, onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11Mmanyi ng’onsanyukira, kubanga omulabe wange tampangudde.
12Onnywezezza mu bwesimbu bwange, ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.
13Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri, oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna. Amiina era Amiina.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.