Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 40

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza, n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
2n’anziggya mu kinnya eky’entiisa, n’annyinyulula mu bitosi, n’anteeka ku lwazi olugumu kwe nyimiridde.
3Anjigirizza oluyimba oluggya, oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe. Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama n’okumwesiganga.
4Balina omukisa abo abeesiga Mukama , abatagoberera ba malala abasinza bakatonda ab’obulimba.
5Ayi Mukama Katonda wange, otukoledde eby’ewunyisa bingi. Ebintu by’otuteekeddeteekedde tewali ayinza kubikutegeeza. Singa ngezaako okubittottola, sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.
6Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala. Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi, tobyetaaga. Naye onzigudde amatu.
7Kyenava njogera nti, “Nzuuno, nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
8Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange, kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
9Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene. Sisirika busirisi, nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama .
10Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange, naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo. Abantu nga bakuŋŋaanye, sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
11Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama , amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde; ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba; bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi, mpweddemu amaanyi.
13Onsasire ayi Mukama ondokole; Ayi Mukama , oyanguwe okumbeera.
14Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale; n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16Naye abo abakunoonya basanyuke era bajaguze; abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti, “ Mukama agulumizibwenga.”
17Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo. Mukama ondowoozeeko. Tolwawo, Ayi Katonda wange. Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.