Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 21

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama , kabaka ajaguliza mu maanyi go. Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga, era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi, n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4Yakusaba obulamu, era n’obumuwa, ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene. Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera, n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7Kubanga kabaka yeesiga Mukama , era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo, kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna; omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9Bw’olirabika, Ayi Mukama , olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde. Mukama , ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna, era alibamalirawo ddala.
10Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi, n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11Newaakubadde nga bakusalira enkwe, ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13Ogulumizibwenga, Ayi Mukama , mu maanyi go. Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.