Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 20

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu. Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
2Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu; akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
3Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa, era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
4Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga, era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
5Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo, ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe. Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
6Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta, amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo, ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
7Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi, naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo, naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
9Ayi Mukama , lokola kabaka, otwanukule bwe tukukoowoola.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.