Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 130

Read Scripture freely. Divine Threads study for this chapter is coming later.

1Ayi Mukama , nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
2Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange; otege amatu go eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
3Ayi Mukama , singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe, ani eyandiyimiridde mu maaso go?
4Naye osonyiwa; noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.
5Nnindirira Mukama , emmeeme yange erindirira era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
6Emmeeme yange erindirira Mukama; mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya; okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.
7Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama , kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo; era y’alina okununula okutuukiridde.
8Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya mu byonoono bye byonna.
Bayibuli Entukuvu mu Luganda — Open Luganda Contemporary Bible. © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc.. Original source Bible: eBible.org/lug. Original translation by Biblica, Inc., freely available from Biblica and Open.Bible. The Scripture is licensed under Creative Commons Attribution–ShareAlike 4.0. Complete original publisher copyright notice. Scripture text adaptations remain under CC BY-SA 4.0. Biblica endorsement is not implied. The original publisher USFM formatting has been adapted to searchable verse rows. Section headings, footnote display markup and some paragraph styling are omitted; Scripture wording and the source-native verse numbers are preserved. Divine Threads research and Kids Corner content are separately authored, not yet translated in this language.