1Isirayiri ayogere nti, “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
2Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange; naye tebampangudde.
3Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
4kyokka Mukama mutuukirivu; amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
5Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe era bazzibweyo emabega nga baswadde.
6Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba , oguwotoka nga tegunnakula.
7Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
8Wadde abayitawo baleme kwogera nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe. Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama .”